Lyrics

Judgement to the bandit to kill our people Serwajja okwota akira nnyinimu entanama Why do you think you're the first And last to abuse rights? Nothing to fear but fear itself Alright! Twali mu Uganda yaffe Baatusanga tweyagalira kuno ne bajja Ne batusalako, bajja n'amagatto gaabwe N'obusaati obwali buyulise ku migongo Ne tubasembeza Baafera bakadde baffe Ne tubeesiga ne tubakweka mu kapanga Ne tubafiirira Baalya ne lumonde waffe Twali bagagga be baamalawo ente zaffe Babbye n'amataka gaffe Ne gye twali twaziika abantu baffe bajja Ne babasendawo Kati bawamba baana baffe Babatiisa nti buli ayogera wano amazima Abeera wa kufa Babakoonye obulenge N'abamu babasse babasudde mu bitoogo Batusigamu katengo Okuggyawo bino naffe tubaddize katengo Abaana ba wano temuba na katengo Ekisibye enkyukakyuka ke katengo Batufuga bumbula lwa katengo Nga be tutya ate be basinga Okubeera n'akatengo Abantu ba kuno temuba na kutya Ekisibye enkyukakyuka kwe kutya Batufuga bumbula lwa kutya Nga be tutya ate be basinga Okubeera n'akatengo Baaleeta ne curfew ne tumugondera Ne bamukozesa okutubba n'okutukyunya Bajja ne mu bufunda ne batukyambuwa Ng'amabbaala g'abagagga go mwattu gakola Obucaali bwa wansi buba buggale Nga waggulu, bo ebyabwe biba biggule Laba abaana ba boda bali ku ndere Tebacacapa, yadde okufuna ku kamere Bino biriwo lwa katengo Buno obusajja mwe tebutuzannyira ku bwongo Bazadde baffe baabuweeka ku migongo Naye kati ssebo bwo bwabafuula abayungwe Wabula, njagala mukimanye tebutusobola Bulidde era bukkuse tebwesobola Abo be mukubagana be basinga okutya Nebwotulisa balloon baweta ne batema Abaana ba wano temuba na katengo Ekisibye enkyukakyuka ke katengo Batufuga bumbula lwa katengo Nga be tutya ate be basinga Okubeera n'akatengo Well this is a special dedication To all the political prisoners 'Member, it's a Dan Magic Production You don't know Our nation is being mortgaged And is we That's being used as collateral So 'member that Laba obuwumbi bwe beewola Okulwanyisa obulwadde Bagula mamundu na teargas Ate zo ssente ze beewoze Bwe tuba ba kusasula Kiritwala myaka nga kinaana Gye tukoma okutiribira Gye bakoma okunyagulula Kiri mu glass Nti Uganda esobolebwa Bwoba nga weebase Kati eno y'essaawa osisimuka Kiri mu glass Nti Uganda etundibwa Abaana ba wano temuba na katengo Ekisibye enkyukakyuka ke katengo Batufuga bumbula lwa katengo Nga be tutya ate be basinga Okubeera n'akatengo
Lyrics powered by www.musixmatch.com
Get up to 2 months free of Apple Music
instagramSharePathic_arrow_out